BABYOGEDDE EBISWAZA! Bannakatemba Madrat ne Chiko, bafungudde omugagga Bryan White, bogedde emize egiswaza gy’abadde abakolako

©GALAXY

Kyaddaki bannakatemba okuli Madrat ne Chiko bawadde ensonga zabwe lwaki bavudde ku Podium y'omugagga Bryan White (Brian Kirumira) owa Bryan White Foundation. Gye buvuddeko omugagga Bryan White yawandiisa abayimbi ne bannakatemba mu kibiina kye ekya Bryan White Foundation okuyambako okukitunda mu ggwanga lyona n'okukyeyambisa okuyamba abantu. Abamu ku bayimbi mwe muli Dr Jose Chameleone, DJ […]


Kyaddaki bannakatemba okuli Madrat ne Chiko bawadde ensonga zabwe lwaki bavudde ku Podium y'omugagga Bryan White (Brian Kirumira) owa Bryan White Foundation.

Gye buvuddeko omugagga Bryan White yawandiisa abayimbi ne bannakatemba mu kibiina kye ekya Bryan White Foundation okuyambako okukitunda mu ggwanga lyona n'okukyeyambisa okuyamba abantu.

Bryan White (Brian Kirumira)
Bryan White (Brian Kirumira)

Abamu ku bayimbi mwe muli Dr Jose Chameleone, DJ Michael, Weasel Manizo, Big Eye, Ssanyu Cindy ne bannakatemba omuli Alex Muhangi, Madrat ne Chiko n'abalala era kigambibwa mbu bonna bagobeddwa.

Bryan White alumiriza abamu ku bayimbi okutwala ssente ze kyoka ne balemwa okutambuza emirimu gye mbu batya okuswala.

Wabula bannakatemba okuli Madrat ne Chiko bagamba nti omugagga Bryan White asukkiridde empisa embi era ssi musajja mwangu.

Bagamba nti Bryan White abalangira emmere gye balya, ssente, eby'okunywa n'okuddugaza ennyumba.

Mungeri y'emu bagambye nti omugagga Bryan White alabisa nnyo nga buli ssente gy'agenda okuwa, alina kubateeka mu kamera ate abadde talina muntu yenna gwaawa kitiibwa era zezimu ku nsonga lwaki bavudde ku Podium.