ENTIISA ebutikidde abatuuze ku kyalo Bwesa mu ggombolola y’e Lwabenge mu disitulikiti y’e Kalungu mu bendobendo lye Masaka, mutuuze munabwe bwasangiddwa ng’afiridde mu kidiba ky’amazzi. Kalyango Joseph myaka 35, kati z’embuyaga ezikunta era abadde mutuuze ku kyalo, kye Lukenke. Omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka (Greater Masaka), Lameck Kigozi agambye nti omugenzi kigambibwa abadde […]
ENTIISA ebutikidde abatuuze ku kyalo Bwesa mu ggombolola y’e Lwabenge mu disitulikiti y’e Kalungu mu bendobendo lye Masaka, mutuuze munabwe bwasangiddwa ng’afiridde mu kidiba ky’amazzi.
Kalyango Joseph myaka 35, kati z’embuyaga ezikunta era abadde mutuuze ku kyalo, kye Lukenke.
Omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka (Greater Masaka), Lameck Kigozi agambye nti omugenzi kigambibwa abadde alina obuzibu ku mutwe era abadde anonyezebwa okumala ennaku biri (2) okutuusa omulambo gwe bwe guzuliddwa abatuuze mu kidiba ky’amazzi ne batemya ku Poliisi.
Lameck agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza engeri Kalyango gye yagudde mu kidiba ky’amazzi ne kivirako okufa kwe.