KITALO NNYO! Omwana myaka 10 bamusobezaako oluvannyuma ne bamutta mu bukambwe

©GALAXY

Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku muwala Christine Namale Birungi myaka 10. Namale abadde muyizi ku Blessed Future Primary School mu kibiina eky’okuna (P4) era yabula ku Lwokubiri ku ssaawa 4 ez’okumakya bwe yali atumiddwa enku kyoka olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu nga 30, Mayi, 2018, omulambo gw’omwana Namale gwasangiddwa mu kibira. Okusinzira ku kojja […]


Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku muwala Christine Namale Birungi myaka 10.

Namale abadde muyizi ku Blessed Future Primary School mu kibiina eky’okuna (P4) era yabula ku Lwokubiri ku ssaawa 4 ez’okumakya bwe yali atumiddwa enku kyoka olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu nga 30, Mayi, 2018, omulambo gw’omwana Namale gwasangiddwa mu kibira.

Okusinzira ku kojja w’omugenzi Tom Nsubuga, omwana wabwe bamusobezaako kuba teyasangiddwa mu mpale y’omunda oluvanyuma ne bamutugga era kiteberezebwa nti omutemu omwana yabadde amumanyi nga yabadde alina okumutta.

Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Luweero okwekebejjebwa.

Paul Kangave
Paul Kangave

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah Paul Kangave, omuntu omu akwattiddwa okuyambako Poliisi okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa.