KITALO NNYO! Omuvubuka asse abooluganda lwe 3 lwa ttaka, enjaga ezuliddwa mu maka ge

©GALAXY

Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Kisanje mu ggombolola y’e Bukulula disitulikiti ey’e Kalungu, omusajja bwakakkanye ku kitaawe, mugandawe ne ssengaawe n’abasanjaga ebiso ne baffirawo. Kalibutemu, ategerekese nga ye Matiya Kalimunda ow’emyaka 25 nga kigambibwa entabwe evudde ku nkayana ku ttaka. Abattiddwa kuliko Musitafa Galamubisi atemera mu gy’obukulu 70, Ssengaawe Bena Nalwadda atemera mu gy’obukulu 80 ne […]


Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Kisanje mu ggombolola y’e Bukulula disitulikiti ey’e Kalungu, omusajja bwakakkanye ku kitaawe, mugandawe ne ssengaawe n’abasanjaga ebiso ne baffirawo.

Kalibutemu, ategerekese nga ye Matiya Kalimunda ow’emyaka 25 nga kigambibwa entabwe evudde ku nkayana ku ttaka.

Abattiddwa kuliko Musitafa Galamubisi atemera mu gy’obukulu 70, Ssengaawe Bena Nalwadda atemera mu gy’obukulu 80 ne muganda we Kasolo Vicent nga busasaana olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.

Kalimunda oluvanyuma lw’okutta abantu abo, abatuuuze bamukubye emiggo egibuze okumutta, Poliisi yasobodde okumutaasa era awereddwa ekitanda mu ddwaaliro ekkulu e Masaka ng’ali mu mbeera mbi.

Lameck Kigozi
Lameck Kigozi

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka (Greater Masaka), Lameck Kigozi, okunywa enjaga y’emu ku nsonga lwaki Kalimunda yatwalidde amateeka mu ngalo.

Mungeri y’emu asabye abantu okweyambisa Poliisi okugonjola ensonga z’ettaka okusinga okwerumaruma.