Omulamuzi wa Buganda Road Charles Yeteise, azzemu okusindiika ku Limanda abantu 8 abakwatibwa ku by’okutta omukyala Suzan Magara. Omulamuzi okwongezaayo, kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Emilly Ninsiima okutegeza kkooti nti bbo bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza. Omulamuzi ayongezaayo okutuusa nga 15, June, 2018 era bonna 8 baziddwayo ku Limanda e Luzira n’okwongezaayo ekiragiro kibakuntumye ku musajja […]
Omulamuzi wa Buganda Road Charles Yeteise, azzemu okusindiika ku Limanda abantu 8 abakwatibwa ku by’okutta omukyala Suzan Magara.
Omulamuzi okwongezaayo, kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Emilly Ninsiima okutegeza kkooti nti bbo bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza.
Omulamuzi ayongezaayo okutuusa nga 15, June, 2018 era bonna 8 baziddwayo ku Limanda e Luzira n’okwongezaayo ekiragiro kibakuntumye ku musajja Patrick Kasaija akyalira ku nsiko.
Mu kkooti, omu ku basibe, akabidde omulamuzi nti betaaga obujanjabi ku bisago ebyabatuusibwako nga bakakwatibwa ne kkomera nga bakwatiddwa, wabula omu ku basirikale agambye nti mu kkomera, bali ku bujanjabi era tebanaba kulemererwa.
Omulamuzi mukwanukula agambye nti abasibe batekeddwa okutegeza munnamateeka wabwe kuba ensonga gye baliko, ya kutyobola eddembe lya buntu.

Oludda oluwaabi lugamba nti Yusuf Lubega ng’avuga bodaboda , Hussein Wasswa nga musuubuzi, Muzamiru Ssali myaka 27, ng’avuga bodaboda, Hajara Nakandi nga mussomesa.
Abalala okuli Abubaker Kyewolwa, 30 nga musuubuzi, Mahad Kasalita nga Imam ku muzikiti gwa Usafi, Hassan Kato Miiro,22 ne Ismail Bukenya benyigira mu kuwamba Suzan Magara myaka 28 nga 7, Febwali, 2018, nattibwa era omulambo gwe ne gusulibwa e Kigo mu Disitulikiti y’e Wakiso era bonna bakwatibwa bali ku misango gya butemu.