KITALO! Omukyala afunye omusajja omulala, bba yetugidde mu nnyumba

©GALAXY

Poliisi y’e Mityana, etandise okunoonyereza ekyaviriddeko ssemaka okwetugira mu nnyumba. Ssemaka, ategerekeseko erya Vincent atemera mu gy’obukulu 28 abadde mutuuze ku kyalo Bamunanika mu ggombolola y’e Mityana, ng’ayasangiddwa abatuuze nga yetugidde mu nnyumba. Kigambibwa Vincent yesse olwa mukyala we Mary Nakiboneka, okumukyawa, nafuna omusajja omulala. Okusinzira ku Andrew Musoke omu ku batuuze, Vincent aludde ng’asindikira […]


Poliisi y’e Mityana, etandise okunoonyereza ekyaviriddeko ssemaka okwetugira mu nnyumba.
Ssemaka, ategerekeseko erya Vincent atemera mu gy’obukulu 28 abadde mutuuze ku kyalo Bamunanika mu ggombolola y’e Mityana, ng’ayasangiddwa abatuuze nga yetugidde mu nnyumba.
Kigambibwa Vincent yesse olwa mukyala we Mary Nakiboneka, okumukyawa, nafuna omusajja omulala.
Okusinzira ku Andrew Musoke omu ku batuuze, Vincent aludde ng’asindikira omukyala ensimbi okuzimba ennyumba kyoka, kyamubuseeko okudda, okuva ku kyalo Gema e Bulera ekisangibwa e Mityana, gy’abadde alimira okumala omwaka mulamba, ng’omukyala yawasa dda omusajja omulala.
Kigambibwa omukyala yekyangidde ku musajja, nasalawo okwetugira mu nnyumba gye bakazimba.
Omulambo, gwatwaliddwa gwanika ly’eddwaaliro e Mityana okwekebejjebwa.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala. Norbert Ochom agambye nti Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza, okwekenenya lwaki omusajja yetugidde mu nnyumba.