Kyaddaki omuyimbi Tracy Kirabo amanyikiddwa nga Pia Pounds asabukuludde ebyama lwaki ayongedde okwesonyiwa abasajja mu ggwanga lino. Pia Pounds eyatandika okuyimba mu 2009, mu kiseera kino ali wansi w’ekibiina kya Eddy Kenzo ekya Big Talent era yafulumiza oluyimba olulala “Wawangula”. Agamba bukya ayingira mu kisaawe ky’okuyimba, abasajja bangi nnyo abavuddeyo nga bagala omukwano era bangi […]
Kyaddaki omuyimbi Tracy Kirabo amanyikiddwa nga Pia Pounds asabukuludde ebyama lwaki ayongedde okwesonyiwa abasajja mu ggwanga lino.

Pia Pounds eyatandika okuyimba mu 2009, mu kiseera kino ali wansi w’ekibiina kya Eddy Kenzo ekya Big Talent era yafulumiza oluyimba olulala “Wawangula”.
Agamba bukya ayingira mu kisaawe ky’okuyimba, abasajja bangi nnyo abavuddeyo nga bagala omukwano era bangi basuubiza ensi n’eggulu.

Omuyimbi Pia Pounds agamba nti abasajja bangi bagamba nti beetegefu okumuwa ssente okutumbula ennyimba ze singa akiriza okuwaayo omukwano era agamba nti ye tayinza kukikola.

Ku nsonga y’emu agambye nti mu Uganda omuyimbi Eddy Kenzo y’omu ku basajja abalina omutima omulungi kuba asobodde okumuyamba okutumbula ennyimba ze omuli n’okumukiriza okwegata ku kibiina kye.

Kenzo alina omukyala omuyimbi Rema Namakula kyoka abangi ku bannayuganda bali bagamba nti Pia Pounds ayinza okutabala amaka ga Rema.