KITALO! Nnabbambula w’omuliro akutte ekisulo ky’abayizi abawala, 1 afudde, 7 bataawa

©GALAXY

Omuyizi omu, afiridde mu muliro ogusanyizaawo ekizimbe ky’essomero lya Kabale Universal Nursery and Primary School ku kyalo Kekubo mu ggombolola y’e Kabale mu disitulikiti y’e Kabale. Adrine Arinda atemera mu gy’obukulu 11, abadde asoma kyamusanvu (P7) yafudde ate musanvu (7) bakoseddwa. Omuliro gwatandiise ku ssaawa 1 n’ekitundu olunnaku olw’eggulo (7:30PM) ku Mmande ne gusanyawo ekisulo […]


Omuyizi omu, afiridde mu muliro ogusanyizaawo ekizimbe ky’essomero lya Kabale Universal Nursery and Primary School ku kyalo Kekubo mu ggombolola y’e Kabale mu disitulikiti y’e Kabale.

Adrine Arinda atemera mu gy’obukulu 11, abadde asoma kyamusanvu (P7) yafudde ate musanvu (7) bakoseddwa.

Omuliro gwatandiise ku ssaawa 1 n’ekitundu olunnaku olw’eggulo (7:30PM) ku Mmande ne gusanyawo ekisulo ky’abayizi abawala era ebintu byona biweddewo, bifuuse vvu.

Abassomesa, abasangiddwa ku ssomero bagamba nti omuliro guvudde ku masanyalaze.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate agambye nti Arinda, afiridde mu ddwaaliro ekkulu e Kabale gy’abadde atwaliddwa okufuna obujanjabi olw’ebisago byafunidde muliro era Poliisi atandiise okunoonyereza ekivuddeko omuliro ekituufu.