ANTI WAAYA! Obwenzi butabudde abaagalana, ssemaka atemyetemye mukyala we namuttirawo

©GALAXY

Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya ssemaka, eyasse mukyala we mu bukambwe namuleka mu mu kitaba ky’omusaayi mu disitulikiti y’e Soroti. Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu kitundu ekyo (DPC), Wilfred Bagenda, ssemaka Julius Masha atemera mu gy’obukulu 45, omutuuze ku kyalo Mulya mu ggombolola y’e Masaba, yasse mukyala we Justine Nadundu atemera mu gy’obukulu 43 ng’amulumiriza okubaliga. […]


Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya ssemaka, eyasse mukyala we mu bukambwe namuleka mu mu kitaba ky’omusaayi mu disitulikiti y’e Soroti.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu kitundu ekyo (DPC), Wilfred Bagenda, ssemaka Julius Masha atemera mu gy’obukulu 45, omutuuze ku kyalo Mulya mu ggombolola y’e Masaba, yasse mukyala we Justine Nadundu atemera mu gy’obukulu 43 ng’amulumiriza okubaliga.

Nadundu abadde yakazaala abaana 5 kyoka eky’ogabangula ekitone, ku buli musajja alina ku ssente y’emu ku nsonga lwaki yattiddwa ku Ssande olw’eggulo.

Okusinzira ku taata w’omugeenzi, Stephen Wogisha, muwala we bamutemyetemye ebiso, nafirawo era omulambo gwe, gwasuuliddwa okumpi n’amaka ge.

Wabula DPC Bagenda, agamba nti ssemaka wadde yaduuse, batandiise omuyiggo okusobola okukwatibwa ku misango gy’obutemu.