Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku nsonga z’omukyala Suzan Magara eyattibwa mu bukambwe. Magara yabuzibwawo nga 7, Febwali, 2018, abantu abagambibwa okumusanga ng’ava ku ttundiro ly’amata erya Bwendero Dairy Farm ku luguudo Kabakanjagala, oluvannyuma yasangibwa ng’attiddwa ng’omulambo gwe gusuuliddwa e Kitiko-Birongo okuliraana oluguudo lwa Entebbe Expressway nga 27, Febwali, 2018, omulambo ogwali […]
Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku nsonga z’omukyala Suzan Magara eyattibwa mu bukambwe.
Magara yabuzibwawo nga 7, Febwali, 2018, abantu abagambibwa okumusanga ng’ava ku ttundiro ly’amata erya Bwendero Dairy Farm ku luguudo Kabakanjagala, oluvannyuma yasangibwa ng’attiddwa ng’omulambo gwe gusuuliddwa e Kitiko-Birongo okuliraana oluguudo lwa Entebbe Expressway nga 27, Febwali, 2018, omulambo ogwali gusaliddwaako engalo.

Wabula olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Museveni bwe yabadde eyogerako eri eggwanga (State of the Nation Address) ku Serena Hotel mu Kampala, yakaatiriza nti bangi ku benyigira mu kutta omuwala Magara bakwatiddwa era bali mu makkomera.
Museveni agamba nti n’abantu ababiri (2) abattibwa ku muzikiti gwa Usafi mu kikwekweeto kya Poliisi n’amaggye n’abbo balina omukono mu by’okuwamba n’okutta Suzan Magara.
Abali mu kkooti ku misango gy’okutta Magara kuliko Mahad Kasalita, Imam ku muzikiti gwa Usafi, Patrick Kasaija, 36, Yusuf Lubega, 32, Muzamiru Ssali,27(bavuga bodaboda), Hussein Wasswa,22 (musubuzi), Hajara Nakandi, 35 (mussomesa), Abubaker Kyewolwa, 30 (musuubuzi) n’abalala.