Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Jane Persis Kigundu alangiridde nga 14, June, 2018 okuwa ensala ye, ku by’okweyimirirwa kwa Yusuf Nyanzi eyakwatibwa, ku by’okutta Major Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Sergeant Steven Mukasa, e Masanafu mu ggombolola y’e Rubaga. Nyanzi ali ku misango gy’obutemu kyoka yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba okuyimbulwa kuba alina […]
Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Jane Persis Kigundu alangiridde nga 14, June, 2018 okuwa ensala ye, ku by’okweyimirirwa kwa Yusuf Nyanzi eyakwatibwa, ku by’okutta Major Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Sergeant Steven Mukasa, e Masanafu mu ggombolola y’e Rubaga.

Nyanzi ali ku misango gy’obutemu kyoka yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba okuyimbulwa kuba alina obuvunanyizibwa omuli okulabirira amaka ate mu kkomera bamutulugunya nga bamukaka okukiriza emisango gy’okutta Major Kiggundu n’omukuumi we Mukasa nga bonna, bakubwa amasasi agabattirawo mu 2016.

Wabula abasirikale mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okuli Sophie Neboshi ku Poliisi y’e Kiira ne Edward Musinguzi ku CPS mu Kampala, basimbidde ekkuuli eky’okuyimbula Nyanzi kuba asukkiridde obulimba nga mu kkomera tewali yamutulugunya ate talina maka gye bayinza kumusanga singa ayimbulwa.

Mungeri y’emu bagambye nti Nyanzi yali mutujju w’akabinja ka Allied Democratic Forces (ADF) kyoka wadde yali awanise mu 2013, yasigala yenyigira mu kumenya amateeka.
Nyanzi ng’akulembeddwamu munnamateeka we Anthony Wameli alina esuubi nti essaawa yonna agenda kuyimbulwa.