LABA SSENTE! Abiriga bamuleseza olubiri lw’amaka ku bwaguuga bwe ttaka, aziikibwa nkya

©GALAXY

Mu nsi yonna, buli muntu yenna ayagala nnyo okuzimba ku maka, okuwona okusindikirizibwa mu nju z’obupangisa. Wabula wadde bangi olw’embeera y’ensi balemererwa kyoka abadde omubaka w’e Arua mu Palamenti Ibrahim Abiriga abadde musajja mukozi nnyo era bagenze okumutta ng’alina amaka amalungi ddala ga mirundi ebiri. Abiriga abadde alina amaka e Kawanda ne mu kyalo mu […]


Mu nsi yonna, buli muntu yenna ayagala nnyo okuzimba ku maka, okuwona okusindikirizibwa mu nju z’obupangisa.

Omugenzi Abiriga ku mmotoka ye
Omugenzi Abiriga ku mmotoka ye

Wabula wadde bangi olw’embeera y’ensi balemererwa kyoka abadde omubaka w’e Arua mu Palamenti Ibrahim Abiriga abadde musajja mukozi nnyo era bagenze okumutta ng’alina amaka amalungi ddala ga mirundi ebiri.

Abiriga abadde alina amaka e Kawanda ne mu kyalo mu disitulikiti y’e Arua agali ku bwaguuga bwe ttaka.

Amaka ga Abiriga mu disitulikiti y’e Arua
Amaka ga Abiriga mu disitulikiti y’e Arua

Omugenzi Abiriga abadde musajja wa “Yellow” nnyo ng’ayagala nnyo ekibiina kye ekya National Resistance Movement (NRM) omuli okwambala engoye ezakyenvu n’amaka ge langi yakyenvu.

Amaka ga Abiriga mu disitulikiti y’e Arua
Amaka ga Abiriga mu disitulikiti y’e Arua

Abiriga yattiddwa ne muganda we Saidi Butele era abadde omukuumi we, nga bakubiddwa amasasi  agabatiddewo okumpi ne Energo Fuel Station e Kawanda okumpi n’amaka g’e mu disitulikiti y’e Wakiso ku Lwokutaano akawungeenzi era wakuzikibwa olunnaku olwenkya ku Mmande nga 11, June, 2018 ku kyalo Rhino-camp, lower Madi disitulikiti y’e Arua.