Omukyala atemera mu myaka 40 akwattiddwa e Fort portal lwa kusobya ku mwana omulenzi myaka 8. Mary Kemigisa omutuuze w’e Kisumbi A cell e Fort portal yakwatiddwa ku by’okusobya ku mwana nga 3, June, 2018. Okusinzira ku maama w’omwana Faridah Asiimwe, Kemigisa yakwata mutabani we namuyingiza mu kisenge kye, namukozesa. Mungeri y’emu agambye nti omwana […]
Omukyala atemera mu myaka 40 akwattiddwa e Fort portal lwa kusobya ku mwana omulenzi myaka 8.
Mary Kemigisa omutuuze w’e Kisumbi A cell e Fort portal yakwatiddwa ku by’okusobya ku mwana nga 3, June, 2018.
Okusinzira ku maama w’omwana Faridah Asiimwe, Kemigisa yakwata mutabani we namuyingiza mu kisenge kye, namukozesa.
Mungeri y’emu agambye nti omwana bamututte mu ddwaliro lya Buhinga Regional Referral Hospital okumwekebejja era abasawo bakiriza nti yakozeseddwa era bamuwadde eddagala okutakiriza ebirwadde ebiyinza okumukwata.
Okusinzira ku Godliver Twinomugisha akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu disitulikiti y’e Kabalore, Kemigisa akwattiddwa era okunoonyereza kwatandiise, okuzuula lwaki yasobeza ku mwana omuto.