BAMBI TONZITA! Agambibwa okutta Maj Muhammad Kiggundu, alomboze ebitiisa mu kkomera, addukidde mu kkooti okuyambibwa

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Persis Kigundu, enkya ya leero asubirwa okuwa ensala ye ku by’okweyimirirwa kwa Yusuf Nyanzi eyakwatibwa ku by’okutta Maj Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Steven Mukasa eyattibwa mu bitundu bye Masanafu mu ggombolola y’e Rubaga. Nyanzi ali ku misango gy’obutemu kyoka yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba okweyimirirwa kuba […]


Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Persis Kigundu, enkya ya leero asubirwa okuwa ensala ye ku by’okweyimirirwa kwa Yusuf Nyanzi eyakwatibwa ku by’okutta Maj Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Steven Mukasa eyattibwa mu bitundu bye Masanafu mu ggombolola y’e Rubaga.

Nyanzi ali ku misango gy’obutemu kyoka yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba okweyimirirwa kuba alina obuvunanyizibwa omuli okulabirira amaka ate mu kkomera baamutulugunya, akirize eby’okutta Maj Kiggundu n’omukuumi we Mukasa, abattibwa ne byasi mu 2016.

 Maj Muhammad Kiggundu ngali ne Maama Fiina eyali mukyala we

Maj Muhammad Kiggundu ngali ne Maama Fiina eyali mukyala we

Wabula sabiti ewedde, abasirikale mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, bawakanya eky’okuyimbula Nyanzi kuba asukkiridde obulimba nga mukkomera gy’ali tewali muntu yenna yali amutulugunyiza ate talina maka gy’ayinza kusangibwa singa ayimbulwa.

Omulamuzi Kigundu agenda kuwa ensala ye, ku ky’okuyimbula Nyanzi era munnamateeka we Anthony Wameli alina esuubi nti omuntu we, agenda kuyimbula olunnaku olwaleero.