Jamil Mukulu, akomezebwawo mu kkooti enkulu mu Kampala ne banne 37 okuva ku Limanda mu kkomera e Luzira, abakwatibwa ku misango egyenjawulo, okutekateeka obujjulizi, obugenda okweyambisibwa mu kiseera ng’emisango, egibavunanibwa, gitandiise okuwulirwa. Mukulu ne banne bagulwako emisango egyenjawulo omuli obutujju, obutemu, okubisa emmundu n’okusingira ddala mu bitundu bye Rwenzori, ng’ akyakulembera akabinja ka Allied Democratic […]
Jamil Mukulu, akomezebwawo mu kkooti enkulu mu Kampala ne banne 37 okuva ku Limanda mu kkomera e Luzira, abakwatibwa ku misango egyenjawulo, okutekateeka obujjulizi, obugenda okweyambisibwa mu kiseera ng’emisango, egibavunanibwa, gitandiise okuwulirwa.
Mukulu ne banne bagulwako emisango egyenjawulo omuli obutujju, obutemu, okubisa emmundu n’okusingira ddala mu bitundu bye Rwenzori, ng’ akyakulembera akabinja ka Allied Democratic Forces (ADF).
Kigambibwa Mukulu ng’asinzira mu kabinja ka ADF, abantu bangi nnyo abattibwa omuli n’abayisiramu abazze batemulwa.
Enkya ya leero, oludda oluwaabi lugenda kwanjulira omulamuzi Eve Luswata obujjulizi obulala obusubirwa okweyambisibwa mu kuwulira emisango gy’abantu abo abakwatibwa.