Abantu bonna abaakwattibwa ku by’okufa kwa Mowzey Radio, bakomezebwawo mu kkooti esokerwako Entebbe enkya ya leero, mu maaso g’omulamuzi Mary Kaitesi, oludda oluwaabi okutegeza kkooti webatuuse mu kunoonyerereza. Kinnajjukirwa, omuyimbi Radio yafiira ku Case Clinic mu Kampala, nga 1, Febwali, 2018 oluvanyuma lw’okubwa, mu bbaala ya De bar Entebbe ne bamwasa omutwe. Amangu ddala, Poliisi […]
Abantu bonna abaakwattibwa ku by’okufa kwa Mowzey Radio, bakomezebwawo mu kkooti esokerwako Entebbe enkya ya leero, mu maaso g’omulamuzi Mary Kaitesi, oludda oluwaabi okutegeza kkooti webatuuse mu kunoonyerereza.
Kinnajjukirwa, omuyimbi Radio yafiira ku Case Clinic mu Kampala, nga 1, Febwali, 2018 oluvanyuma lw’okubwa, mu bbaala ya De bar Entebbe ne bamwasa omutwe.

Amangu ddala, Poliisi yakwata Godfrey Wamala amanyikiddwa nga Troy, omutuuze w’e Kyengera mu ggombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, nasindikibwa ku limanda mu kkomera e Kigo mu disitulikiti y’e Wakiso ku misango gy’obutemu.

Wabula emirundi gyona 7 kkooti gye yakatuula, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Markbeth Agumenitwe, bategeza omulamuzi nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza era betaaga obudde.
Omulundi ogwasembayo nga 23, Mayi, 2018, famire y’omugenzi nga bakulembeddwamu maama w’omugenzi, Kasubo Jane, bakaabira mu kkooti amaziga olw’omulamuzi okwongezaayo emisango gy’abantu abagaambibwa okutta mutabani we kuba alemeddwa okufuna amazima n’obwenkanya.