AWEDDE! Agambibwa okutta ASP Francis Kato asindikiddwa ku limanda e Luzira

©GALAXY

Kkooti ya City Hall mu Kampala, esindise ku Limanda omusajja eyakwatibwa ku by’okutta eyali adduumira Poliisi y’e Kyebando ASP Francis Kato. Omulamuzi Beatrice Kainza yaali mu musango gwo era omuvunaanibwa Happy Mwesigye atemera mu gy’obukulu 39, asindikiddwa ku limanda e Luzira, okutuusa nga 3, July, 2018, oluvanyuma lw’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lydia Batiibwe, okuteeza kkooti […]


Kkooti ya City Hall mu Kampala, esindise ku Limanda omusajja eyakwatibwa ku by’okutta eyali adduumira Poliisi y’e Kyebando ASP Francis Kato.

Omulamuzi Beatrice Kainza yaali mu musango gwo era omuvunaanibwa Happy Mwesigye atemera mu gy’obukulu 39, asindikiddwa ku limanda e Luzira, okutuusa nga 3, July, 2018, oluvanyuma lw’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lydia Batiibwe, okuteeza kkooti nti, bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza.

Bettinga owangule nehttps://www.kagwirawo.co.ug//

ASP Francis Kato yattibwa nga 17, March, 2018 e Kyebando nga yatomerwa emmotoka eyali ewenyuka obuweewo bwe yali agenda ku mirimu gye, era kigambibwa nti Mwesigye ne banne abakyanonyezebwa balina kyebamanyi.

Mwesigye takiriza kunyega kigambo kyona kuba emisango egimuvunaanibwa gya naggomola.