TWAGALA SSENTE! Abasomesa mu yunivaasite za Gavumenti balangiridde okwekalakaasa n’okutandiika nga 3, August, 2018

©GALAXY

Abakozi ku yunivaasite za Gavumenti omuli abassomesa n’abo abayambako emirimu okutambula obulungi nga tebasomesa omuli abalongosa kabuyonjo, ebibiina n’emirimu emirala, balangiridde okuteeka wansi ebikola nga 3, August, 2018, olwa Gavumenti okulemwa okuteeka mu nkola ebisuubizo byaayo. Abassomesa n’abakozi ku yunivaasite okuli Makerere, Kyambogo, Busitema, Kabale, Mbarara, Gulu n’amalala, bagamba nti Gavumenti yabasubiza okulongosa emisaala gyabwe, […]


Abakozi ku yunivaasite za Gavumenti omuli abassomesa n’abo abayambako emirimu okutambula obulungi nga tebasomesa omuli abalongosa kabuyonjo, ebibiina n’emirimu emirala, balangiridde okuteeka wansi ebikola nga 3, August, 2018, olwa Gavumenti okulemwa okuteeka mu nkola ebisuubizo byaayo.

Abassomesa n’abakozi ku yunivaasite okuli Makerere, Kyambogo, Busitema, Kabale, Mbarara, Gulu n’amalala, bagamba nti Gavumenti yabasubiza okulongosa emisaala gyabwe, okuva 2015 okutuukira ddala 2020 kyoka ekyalemeddwa.

Mu nsisinkano eyabaddewo akawungeenzi k’olunnaku olw’eggulo ku yunivaasite y’e Makerere, bajjukiza omukulembeze w’eggwanga linon Yoweri Kaguta Museveni, nti yasuubiza nti 2020, omussomesa yenna ku ddala lya Polofeesa alina okufuna obukadde 15 kyoka mu bajjeti z’eggwanga eziyisibwa, ssente zabwe tezitekebwamu.

Dr Deus Muhwezi Kamunyu
Dr Deus Muhwezi Kamunyu

Okusinzira ku ssentebbe w’ekibiina ekigata abassomesa ku yunivasite y’e Makerere ekya Makerere University Academic Staff Association (MUASA), Dr Deus Muhwezi Kamunyu, tebalina esuubi nti bakufuna ensimbi ezo okwongeza omusaala gwa bassomesa kuba Gavumenti esukkiridde obulimba mu bajjeti zaayo.

Bettinga owangule nehttps://www.kagwirawo.co.ug//

Ate Rev. Dr Grace Lubaale ssentebbe w’ekibiina ekigata yunivaasite za Gavumenti ekya  Forum for Academic Staff of Public Universities (FASPU), agamba nti Gavumenti esukkiridde okulimba abassomesa era bakooye era y’emu ku nsonga lwaki balangiridde okuyimiriza emirimu gyabwe.

Mungeri y’emu agambye nti tewali yunivaasite yonna egenda kuddamu kussomesa mwana yenna okuva nga 3, August, 2018 kuba betaaga ensimbi zabwe.