HAKUNA MUCHEZO! Embizzi zibizadde, omulamuzi akambuwadde, alagidde Afande Joseph Bakaleke akwatibwe mu bwangu

©GALAXY

Kkooti ya Buganda Road, efulumiza ekibaluwa ki bakuntumye, okukwata eyali adduumira ya Kampala eyamaserengetta Afande Joseph Bakaleke n’eyali akulira okunoonyereza mu offisi ye Richard Bwengye. Omulamuzi Marion Mangeni okulagira abantu abo okwatibwa, kidiridde okugyema okweyanjula mu kkooti okuleeta ebizibiti n’obujjulizi bw’abantu abakwatibwa okuli Ferdinand Luta ne Joseph Lukwago aba Jobless Brotherhood ku by’okusuula embizzi 10 […]


Kkooti ya Buganda Road, efulumiza ekibaluwa ki bakuntumye, okukwata eyali adduumira ya Kampala eyamaserengetta Afande Joseph Bakaleke n’eyali akulira okunoonyereza mu offisi ye Richard Bwengye.

Omulamuzi Marion Mangeni okulagira abantu abo okwatibwa, kidiridde okugyema okweyanjula mu kkooti okuleeta ebizibiti n’obujjulizi bw’abantu abakwatibwa okuli Ferdinand Luta ne Joseph Lukwago aba Jobless Brotherhood ku by’okusuula embizzi 10 ku Palamenti y’eggwanga mu 2016 nga bawakanya buli mubaka wa Palamenti okuwebwa obukadde 200 okufuna emmotoka.

Kigambibwa Afande Bakaleke yakulemberamu okutwala ebizibiti by’embizzi n’ebirala okwali engoye zabwe, kyoka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Elizabeth Nandala lulemeddwa okusendasenda abantu abo okuli, Afande Bakaleke ne munne Bwengye basobole okweyanjula mu kkooti, ekitabudde munnamateeka w’oludda oluwawabirwa Isaac Semakadde.

Semakadde asabye omulamuzi okuyisa ekibaluwa ki bakuntumye abantu abo okukwatibwa n’omulamuzi kyakoze, era omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 20, July, 2018.