OKABASANYA ABAYIZI! Yunivaasite y’e Makerere ereese obukodyo obuggya, abassomesa babalemeseza okugikwatako

©GALAXY

Akakiiko akatekebwawo okunoonyereza ku by’okabasanya abayizi ku yunivaasite y’e Makerere, kafulumiza alipoota ne kalagira yunivaasite okuteeka mu nkola ebintu ebyenjawulo ebiyinza okuyambako okulwanyisa ebikolwa ebyo. Akakiiko, kalagidde yunivaasite okuteeka Kkamera ku yunivaasite yonna, okussomesa abaana eddembe lyabwe, yunivaasite okuteekawo akakiiko abayizi gye bayinza okudukira okwekubira enduulu, Poliisi ku yunivaasite okunyikiza okulawuna obudde bwona n’okusingira ddala […]


Akakiiko akatekebwawo okunoonyereza ku by’okabasanya abayizi ku yunivaasite y’e Makerere, kafulumiza alipoota ne kalagira yunivaasite okuteeka mu nkola ebintu ebyenjawulo ebiyinza okuyambako okulwanyisa ebikolwa ebyo.

Akakiiko, kalagidde yunivaasite okuteeka Kkamera ku yunivaasite yonna, okussomesa abaana eddembe lyabwe, yunivaasite okuteekawo akakiiko abayizi gye bayinza okudukira okwekubira enduulu, Poliisi ku yunivaasite okunyikiza okulawuna obudde bwona n’okusingira ddala obudde bw’ekiro, okulwanyisa makisi okubulankanyizibwa n’ensonga endala nga byona birina okutekebwa mu nkola obutasukka 31, Mayi, 2019.

Ku nsonga ya Kkamera, ssentebbe w’akakiiko akakulembeddemu okunoonyereza, Polof Sylvia Tamale agambye nti singa kkamera zitekebwa ku yunivaasite yonna, kiyinza okukendeza ebikolwa eby’abassomesa okabasanya abayizi.

Mungeri y’emu agambye nti balina okutekawo amateeka amakambwe eri abassomesa abaganza abayizi kyoka awakanyiza ebigambibwa nti abayizi okwambala enkunamyo, kiviriddeko abayizi okukema abassomesa.

Polof Sylvia agamba nti waliwo abayizi abambala Hijjabu abakabasanyizibwa abassomesa ekiraga nti buli mwana yenna akosebwa.

Polof. Barnabas Nawangwe
Polof. Barnabas Nawangwe

Ku nsonga eyo, amyuka chansala ku yunivaasite y’e Makerere Polof. Barnabas Nawangwe agambye nti balina okunoonya ssente okuteeka kkamera ku yunivaasite yonna kyoka awakanyiza abigambibwa nti kkamera zigenda kuyamba okumalirawo ddala okabasanya abayizi.