OOHH OBUWOOMI! Abalya ennyama y’embwa e Kasese balemeddeko, tewali ayinza kutulemesa

©GALAXY

Abavubuka abasuuka mu 10 mu katawuni k’e Munkunyu mu ggombolola y’e Munkunyu mu disitulikiti y’e Kasese, begumbulidde okulya embwa ng’emu ku ngeri egenda okuyambako okukendeza ku mbwa ezongedde okutayaaya mu byalo mu kitundu kyabwe. Abavubuka nga bonna bagaanye okwatukiriza amannya gabwe, bagambye nti ennyama y’embwa, yekyasinze okuwooma mu nsi yonna era bangi ku bannayuganda basubwa […]


Abavubuka abasuuka mu 10 mu katawuni k’e Munkunyu mu ggombolola y’e Munkunyu mu disitulikiti y’e Kasese, begumbulidde okulya embwa ng’emu ku ngeri egenda okuyambako okukendeza ku mbwa ezongedde okutayaaya mu byalo mu kitundu kyabwe.

Abavubuka nga bonna bagaanye okwatukiriza amannya gabwe, bagambye nti ennyama y’embwa, yekyasinze okuwooma mu nsi yonna era bangi ku bannayuganda basubwa dda.

Mungeri y’emu bagambye nti ennyama y’emwa ewooma nnyo ng’esiikiddwa bulungi oba ng’eyokeddwa ate esikiriza abantu bangi nnyo okugirya.

Wabula Dr. Godfrey Kalule omusawo w’ebisolo mu disitulikiti y’e Kasese, alabudde abalya ennyamba y’embwa okakasa nti embwa zebalya zigemeddwa, okutangira endwadde okubalumbagana.