Poliisi etandiise okunoonyereza abatemu, abasse omusuubuzi olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri ku makya era omulambo gwe, gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi. Wyclif Mugume atemera mu gy’obukulu 32, abadde musuubuzi w’amatooke, e Kireka mu Katale era abadde mutuuze w’e Kamuli C, e Kireka mu disitulikiti y’e Wakiso. Abatemu, batemyetemye Mugume nga beyambisa ejjambiya era omulambo gwe, gwalabiddwa abatuuze […]
Poliisi etandiise okunoonyereza abatemu, abasse omusuubuzi olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri ku makya era omulambo gwe, gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.
Wyclif Mugume atemera mu gy’obukulu 32, abadde musuubuzi w’amatooke, e Kireka mu Katale era abadde mutuuze w’e Kamuli C, e Kireka mu disitulikiti y’e Wakiso.
Abatemu, batemyetemye Mugume nga beyambisa ejjambiya era omulambo gwe, gwalabiddwa abatuuze ababadde bagenda ku mirimu gyabwe ne batemya ku Poliisi.
Poliisi okuva e Kireka ng’ekulembeddwamu Nicolas Muyonjo basobodde okweyambisa embwa, okunoonya abatemu kyoka tewali kyazuliddwa kuba abatuuze babadde basambiridde ekifo kyona.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyira agambye nti Poliisi esobodde okuzuula ejjambiya gye basobodde okweyambisa okutta Mugume era Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula abatemu bonna bakwatibwe kuba omugenzi bamubyeko obukadde 4 obwa Uganda.
Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.