KITALO NNYO! Ssemaka asse mukyala we mu bukambwe, abadde lubuto lwa myeezi 8

©GALAXY

Poliisi eri kusamba nsiko, okunoonya ssemaka, eyasse mukyala we, omulambo nagusibira mu nju mu disitulikiti y’e Kakumiro okumala ennaku biri (2). Robert Niringiyo atemere mu gy’obukulu 35 nga munnansi wa Rwanda, omutuuze ku kyalo Kihanga mu ggombolola y’e Kakindo, gwe banoonya ku by’okutta Fortunate Atuhairwe, atemera mu gy’obukulu 28. Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo George Rubohere, […]


Poliisi eri kusamba nsiko, okunoonya ssemaka, eyasse mukyala we, omulambo nagusibira mu nju mu disitulikiti y’e Kakumiro okumala ennaku biri (2).

Robert Niringiyo atemere mu gy’obukulu 35 nga munnansi wa Rwanda, omutuuze ku kyalo Kihanga mu ggombolola y’e Kakindo, gwe banoonya ku by’okutta Fortunate Atuhairwe, atemera mu gy’obukulu 28.

Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo George Rubohere, abatuuze bebakulembeddemu okumenya ennyumba olw’ekivunda ekibadde mu nju era amaaso gabwe gatuukidde ku mulambo.

Ate alipoota y’abasawo egamba nti Omugenzi Atuhairwe abadde lubuto lwa myeezi munaana (8) ne sabiti biri (2) ate abadde n’abaana babiri 2.

Wabula Nelson Lubwama akulira Poliisi y’e Kakindo agambye nti bafunye okutegezebwa nti ssemaka Niringiyo yekukumye mu disitulikiti y’e Mubende era Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza.

Mungeri y’emu agambye nti omulambo gwa Atuhairwe n’omwana eyasangiddwa mu lubuto, giwereddwa ab’enganda okutekateeka okuziika kyoka ekyavuddeko ettemu eryo, tekinamanyika.