BABANYWEDDE! Ekikwekweeto ku bamenyi b’amateeka mu Kampala, abasuuka mu 1,000 bakwatiddwa

©GALAXY

Abantu 1355 bebakakwatibwa mu bikwekweeto ebikoleddwa Poliisi mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, 436 batwaliddwa mu kkooti. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire abakwatiddwa bagiddwa mu bitundu bya Kampala n’emirirwano ebyenjawulo omuli Wandegeya, Nansana, Wakiso, Ntebbe, Kampala wakati, Kabalagala, Muyenga n’ebitundu ebirala. Mungeri y’emu agambye nti ebikwekweeto bigendereddwamu okukwata abantu […]


Abantu 1355 bebakakwatibwa mu bikwekweeto ebikoleddwa Poliisi mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, 436 batwaliddwa mu kkooti.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire abakwatiddwa bagiddwa mu bitundu bya Kampala n’emirirwano ebyenjawulo omuli Wandegeya, Nansana, Wakiso, Ntebbe, Kampala wakati, Kabalagala, Muyenga n’ebitundu ebirala.

Abamu ku bakwatiddwa
Abamu ku bakwatiddwa

Mungeri y’emu agambye nti ebikwekweeto bigendereddwamu okukwata abantu bonna abasukkiridde okutigomya abantu nga batwala ebintu byabwe omuli okunyakula ensawo z’abakyala, amassimu, okumenya amanyumba ne batwala ebintu omuli ttiivi, abakuba abantu ne batwala ebintu byabwe n’okubatta ate pikipiki 8 zizuliddwa.

Ebimu ku bizibiti
Ebimu ku bizibiti