Poliisi y’e Jinja ekutte ssemaka ne mukyala we ku by’okulagajjalira omwana wabwe myaka 4 nafiira mu nnyumba. Abakwatiddwa kuliko Grace Musana ne Susan Naguyo ku by’okutta omwana Sheila Mutunda akawungeenzi k’olunnaku Olwokutaano. Okusinzira ku Poliisi, ssemaka ne mukyala we, bagalidde omwana mu nnyumba ne bagenda okukyakala nga basibiddemu sigiri mu nnyumba eyavuddeko omuliro era abatuuze […]
Poliisi y’e Jinja ekutte ssemaka ne mukyala we ku by’okulagajjalira omwana wabwe myaka 4 nafiira mu nnyumba.
Abakwatiddwa kuliko Grace Musana ne Susan Naguyo ku by’okutta omwana Sheila Mutunda akawungeenzi k’olunnaku Olwokutaano.
Okusinzira ku Poliisi, ssemaka ne mukyala we, bagalidde omwana mu nnyumba ne bagenda okukyakala nga basibiddemu sigiri mu nnyumba eyavuddeko omuliro era abatuuze bavuddeyo okutakiriza ng’omwana amazze okufa.
Ssemaka mu kwewozaako, yabagambye nti yabadde awerekeddeko mukyala we mu ddwaliro, okufuna obujanjabi.
Wabula Poliisi agamba nti bafumbo bombi, baguddwako okulagajjalira omwana wabwe ekyaviriddeko okufa kyoka bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza.