AUDIO! Omukazi akwattiddwa ku by’okutta omwana wa muggya we myezi 2, akabidde amaziga ku Poliisi

©GALAXY

Poliisi y’e Jinja ekutte omukyala ku by’okutta omwana wa muggya we olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri. Alazia Mukyeyaya omutuuze ku kyalo Wanyage Lake mu town council y’e Kakira mu disitulikiti y’e Jinja, akwattiddwa ku by’okutta Ryan Kasango abadde yakazaalibwa emyezi ebiri (2). Okusinzira ku nnyina w’omugenzi Rachel Alabwike, muggya we yamulumbye, namusikambula, omwana Kasango naggwa wansi […]


Poliisi y’e Jinja ekutte omukyala ku by’okutta omwana wa muggya we olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.

Alazia Mukyeyaya omutuuze ku kyalo Wanyage Lake mu town council y’e Kakira mu disitulikiti y’e Jinja, akwattiddwa ku by’okutta Ryan Kasango abadde yakazaalibwa emyezi ebiri (2).

Okusinzira ku nnyina w’omugenzi Rachel Alabwike, muggya we yamulumbye, namusikambula, omwana Kasango naggwa wansi nazirika.

Amangu ddala, baduukidde mu ddwaliro erya maternity clinic mu Town council y’e Bugembe, abasawo ne bakabatema nti mufu.

Ku nsonga eyo, ssemaka nanyini bakyala abatakwatagana Ramadhan Kasango, agamba nti bakyala be, baludde nga bayombagana n’okulwanagana.

Wabula adduumira Poliisi y’e Jinja, Jaffar Satte agambye nti omukyala Mukyeyaya akwattiddwa ku misango gy’obutemu.