Poliisi y’e Kakiri ekutte omussomesa eyasobeza ku muyizi w’essomero myaka 8 egy’obukulu. Anthony Kayondo atemera mu gy’obukulu 26 yakwatiddwa era bamukuumira mu kaduukulu ka Poliisi e Kakiri ku misango gy’okusobya ku mwana. Kigambibwa, abazadde batukirira omussomesa Kayondo, okuyambako okussomesa omwana wabwe mu ngeri eyenjawulo, ky’oyinza okuyita “Coaching” kyoka beewunyiza abatuuze okusanga omussomesa ng’abojjerera omwana mu […]
Poliisi y’e Kakiri ekutte omussomesa eyasobeza ku muyizi w’essomero myaka 8 egy’obukulu.
Anthony Kayondo atemera mu gy’obukulu 26 yakwatiddwa era bamukuumira mu kaduukulu ka Poliisi e Kakiri ku misango gy’okusobya ku mwana.
Kigambibwa, abazadde batukirira omussomesa Kayondo, okuyambako okussomesa omwana wabwe mu ngeri eyenjawulo, ky’oyinza okuyita “Coaching” kyoka beewunyiza abatuuze okusanga omussomesa ng’abojjerera omwana mu kibira kye Nadangila.
Omussomesa Kayondo, akiriza okujjula ebitanajja era essaawa yonna bamutwala mu kkooti nga singa omusonga gumusinga, ayinza okusibwa emyaka 18 ne bbaluwa ze ez’obussomesa okusazibwamu.