Poliisi y’e Kabale ekutte abannansi ba Rwanda 72 ku by’okuyingira eggwanga lino nga bonna tebalina biwandiiko. Abakwatiddwa kuliko abaana 11, abakyala 20 n’abasajja 41 era basangiddwa mu baasi 2 okuli eya Kampuni ya Kalita ne Horizon nga bolekera disitulikiti y’e Kagadi sako ne Kabarole. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate […]
Poliisi y’e Kabale ekutte abannansi ba Rwanda 72 ku by’okuyingira eggwanga lino nga bonna tebalina biwandiiko.
Abakwatiddwa kuliko abaana 11, abakyala 20 n’abasajja 41 era basangiddwa mu baasi 2 okuli eya Kampuni ya Kalita ne Horizon nga bolekera disitulikiti y’e Kagadi sako ne Kabarole.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate abakwatiddwa bali ku Poliisi y’e Kigezi nga Poliisi bw’egenda mu maaso n’okunoonyereza.
Maate era agambye nti abakyala n’abaana 36 batwaliddwa ab’ekitongole kya Immigration okusobola okubazaayo mu ggwanga lya Rwanda ate bbo abasajja 46 essaawa yonna batwalibwa mu kkooti ku misango egyenjawulo.
Kigambibwa abakwatiddwa basobodde okweyambisa ensalo ya Rubaya, Bigaga, Kamwenzi ne Bufundi nga bategezeza nti bagenda mu Ssamba ly’amajjani erya Bunyoro ne Kijura Tea Plantation mu disitulikiti y’e Kabarole ng’abakozi.