EKYA MOBILE MONEY KIWEDDE! Gavumenti epondoose, omusolo ku bateeka ssente ku ssimu gugiddwawo

©GALAXY

Gavumenti, ategeezezza nga ekitongole ekiwooza omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA), bwe kimaze okuwandiikira kampuni z’amasimu mu ggwanga, okuzigaana okuggya omusolo ku bantu bona abateeka ssente ku ssimu zabwe. Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okutekeratekera eggwanga, David Bahati omuntu yekka agenda okusindiika oba okugyayo ssente, yatekeddwa okuwa omusolo gwa shs 1 ku buli […]


Gavumenti, ategeezezza nga ekitongole ekiwooza omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA), bwe kimaze okuwandiikira kampuni z’amasimu mu ggwanga, okuzigaana okuggya omusolo ku bantu bona abateeka ssente ku ssimu zabwe.

David Bahati
David Bahati

Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okutekeratekera eggwanga, David Bahati omuntu yekka agenda okusindiika oba okugyayo ssente, yatekeddwa okuwa omusolo gwa shs 1 ku buli 100, wadde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, olunnaku olw’eggulo yagambye nti omusolo ku Mobile Money gulina okuba gwa 0.5 okusobozesa abantu okusigala ku mirimu gyabwe.

Minisita Bahati era agambye nti balina okusoloza omusolo kuba bagwetaaga nnyo Gavumenti okusobola okutambuza emirimu omuli okunyweza ebyokwerinda, okuzimba n’okulongosa amawaliro, amassomero, okuwa abakozi ba Gavumenti omusaala n’ensonga endala.