Poliisi y’e Luweero ekutte omuvubuka kalibutemu abadde eyigibwa okumala emyaka egiwera era y’omu kwabo abakulembera akabinja ka Bad Boys 13 (B13). Abdul Karim amanyikiddwa nga Cobra abadde ayigibwa, okuva mu 2015 ku misango egyenjawulo omuli omubbi, obutemu n’okumenya amayumba n’okuyiwa omusaayi gw’abantu nga bafumitiddwa ebiso. Adduumira Poliisi y’e Luweero, Benson Byaruhanga, agambye nti Karim, yasangiddwa […]
Poliisi y’e Luweero ekutte omuvubuka kalibutemu abadde eyigibwa okumala emyaka egiwera era y’omu kwabo abakulembera akabinja ka Bad Boys 13 (B13).
Abdul Karim amanyikiddwa nga Cobra abadde ayigibwa, okuva mu 2015 ku misango egyenjawulo omuli omubbi, obutemu n’okumenya amayumba n’okuyiwa omusaayi gw’abantu nga bafumitiddwa ebiso.
Adduumira Poliisi y’e Luweero, Benson Byaruhanga, agambye nti Karim, yasangiddwa mu town council y’e Wobulenzi era yasangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli ebijjambiya, emiggo, obutayimbwa nga yeteekateeka okubba.
DPC Byaruhanga agambye nti Karim yali musajja mudugavu nnyo kyoka bewuunyiza okukwatibwa nga yenna yeyerusa dda.
Mungeri y’emu agambye nti essaawa yonna bamutwala mu kkooti, okuvunanibwa emisango gye.

Eddoboozi lya DPC Byaruhanga
Kinnajukirwa nti ku ntandiikwa ya sabiti eno, omulamuzi wa kkooti enkulu mu disitulikiti y’e Luweero Anna Mugenyi yasindika ku kalabba abavubuka babiri (2) era okuva mu kabinja ka B13.
Bettinga owangule nehttps://www.kagwirawo.co.ug//
Abalindiridde okuwanikibwa ku kalabba kuliko Eric Kirya ne Ahamada Ssempala nga batuuze mu kibuga Luweero ku by’okutta omusirikale Geoffrey Bala n’okulumya musirikale omulala Sarah Achan mu 2015 ku Poliisi y’e Luweero.
Ate bannabwe 7 babasonyiwa olwa Gavumenti okulemererwa okuleeta obujjulizi obuyinza okubalumiriza okuli Denis Ssebagala, Isma Mafabi, Francis Nsamba, Umar Sserugo, Jimmy Kafeero, Patrick Ssonko ne William Katongole nga bonna batuuze mu town council y’e Luweero.