AUDIO! Ekikwekweeto mu Kampala, abatakisi bakwatiddwa, batwalibwa mu kkooti okubitebya

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte ba ddereeva b’emmotoka ezenjawulo lwa kumenya amateeka nga bali ku kkubo. Okusinzira kw’akulira Poliisi y’ebidduka ku CPS mu Kampala Julius Luyima, mu kikwekweeto kyabwe ba ddereeva abasuuka 30 bakwattiddwa n’okusingira ddala aba takisi era essaawa yonna batwalibwa mu kkooti. Luyima agamba nti bangi ku bakwattiddwa, basangiddwa nga tebasibye misipi, abamu tebalina […]


Poliisi mu Kampala ekutte ba ddereeva b’emmotoka ezenjawulo lwa kumenya amateeka nga bali ku kkubo.

Okusinzira kw’akulira Poliisi y’ebidduka ku CPS mu Kampala Julius Luyima, mu kikwekweeto kyabwe ba ddereeva abasuuka 30 bakwattiddwa n’okusingira ddala aba takisi era essaawa yonna batwalibwa mu kkooti.

Luyima agamba nti bangi ku bakwattiddwa, basangiddwa nga tebasibye misipi, abamu tebalina biwandiiko omuli driving permit ssaako mmotoka ziganyegenya.

Mungeri y’emu Luyima akatiriza nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okusobola okutereza ebyentambula mu Kampala.