MUMMY MPULIRA NFA! Omwana bamusobezaako kirindi ne banafuya akataago, kigweredde mu mmotoka Rav 4

©GALAXY

Poliisi y’e Kabale ekutte omusajja myaka 27 ku by’okusobya ku mwana w’essomero atemera mu gy’obukulu 14. Robertson Nasasira omutuuze ku kyalo Nyabikoni mu ggombolola y’e Kabale yakwattiddwa. Okusinzira ku Poliisi, nga 4, July, 2018, Nasasira ng’ali ne mukwano gwe aliira ku nsiko basaanga omuyizi wa Kabale SS, akawungeenzi nga batereddwa okudda awaka nga balina mu […]


Poliisi y’e Kabale ekutte omusajja myaka 27 ku by’okusobya ku mwana w’essomero atemera mu gy’obukulu 14.

Robertson Nasasira omutuuze ku kyalo Nyabikoni mu ggombolola y’e Kabale yakwattiddwa.

Okusinzira ku Poliisi, nga 4, July, 2018, Nasasira ng’ali ne mukwano gwe aliira ku nsiko basaanga omuyizi wa Kabale SS, akawungeenzi nga batereddwa okudda awaka nga balina mu mmotoka namba AUP 605P ekika kya Rav 4, nga Blue ne basaba omuwala okumutwalako.

Emmotoka ekika kya Rav 4
Emmotoka ekika kya Rav 4

Poliisi egamba nti, webatuuka mu kkubo, basiba omwana amaaso ne bakyusa n’oluggudo, natwalibwa okumpi ne nnyanja Bunyonyi, Nasasira ne mukwano gwe ne basobya ku mwana, oluvanyuma ne bamusuula ebbali w’ekkubo.

Elly Maate
Elly Maate

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, owa bodaboda yasobola okutaasa omwana eyali esuuliddwa mu nsiko, kyoka abakikola omu Nasasira yakwatiddwa wadde nga mukwano gwe, akyalira ku nsiko.