Abasajja 6 bakwattibwa ku by’okutta abakyala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, bazzemu okusindikibwa ku Limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 23, July, 2018. Banno okuli Kamada Mugabe myaka (22), Olo John Bosco myaka 26, Ali Dumba Salongo musawo wa kinnansi e Masajja, Frank Ssendi myaka 24 avugga bodaboda e Kawempe, Brian Kaaya ne Herbert Lukwago […]
Abasajja 6 bakwattibwa ku by’okutta abakyala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, bazzemu okusindikibwa ku Limanda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 23, July, 2018.
Banno okuli Kamada Mugabe myaka (22), Olo John Bosco myaka 26, Ali Dumba Salongo musawo wa kinnansi e Masajja, Frank Ssendi myaka 24 avugga bodaboda e Kawempe, Brian Kaaya ne Herbert Lukwago bagulwako emisango egyenjawulo omuli okuwaamba n’okutta abantu mu maaso g’omulamuzi Roseline Nsenge ow’eddala erisooka ku LDC mu Kampala.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Roseline Kipora, lutegezeza omulamuzi nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza kwabwe ekiwaliriza omulamuzi okwongezaayo omusango ogwo, okutuusa nga 23, July, 2018.
Wabula mu kkooti omu ku basibe, Kamada awanjagidde omulamuzi okukyusibwa okugibwa e Luzira Upper Prison okutwalibwa ku Murchison Bay kuba alina okutya nti omusawo w’ekinnansi Ali Dumba Salongo ayinza okumutusaako obulabe essaawa yonna.
Omulamuzi alagidde, abakulu mu kitongole ky’amakkomera, okuteeka mu nkola okusaba kwa Kamada, akyusibwe kuba ensonga ye erimu eguumba.
Abamu ku bakyala abattibwa kuliko Halima Rehema eyawambibwa nga 24, May, 2018, okuva e Masajja, Makindye Sabagabomu disitulikiti y’e Wakiso, nattibwa era omulambo gwe ne gusulibwa mu nsiko.
Mungeri y’emu benyigira mu kutta omukyala Rose Nakisekka, eyasangibwa ng’atiddwa nga 11, May, 2018, Kirinyabigo, Mutundwe mu disitulikiti y’e Kampala, nga yambibwa okuva mu paaka empya mu Kampala ku Namirembe Road n’ekigendererwa eky’okusaba bazadde be ssente.