Poliisi mu Kampala ekutte Takisi ebadde yeyambisibwa abantu abakyamu okukola ebikolobero. Takisi namba UBB 724M yakwatiddwa ku wikendi e Bweyogerere n’abasajja babiri (2) ku by’okuwamba abaana babiri (2) n’ekigendererwa eky’okusaba ssente okuva mu bazadde. Hajji Musa Muliika, taata w’abaana ababadde bawambiddwa okuva ku kyalo Kigandazi Zone e Bweyogerere, yaduukidde ku Poliisi y’e Bweyogerere okutegeeza abasirikale […]
Poliisi mu Kampala ekutte Takisi ebadde yeyambisibwa abantu abakyamu okukola ebikolobero.
Takisi namba UBB 724M yakwatiddwa ku wikendi e Bweyogerere n’abasajja babiri (2) ku by’okuwamba abaana babiri (2) n’ekigendererwa eky’okusaba ssente okuva mu bazadde.
Hajji Musa Muliika, taata w’abaana ababadde bawambiddwa okuva ku kyalo Kigandazi Zone e Bweyogerere, yaduukidde ku Poliisi y’e Bweyogerere okutegeeza abasirikale nti abaana bawambiddwa.

Abakwatiddwa, babadde batandiise okusaba abazadde ssente obukadde 3 era babakwatidde Kireka.
Akulira Poliisi y’e Bweyogerere ASP Mike Mugabe agambye nti abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Kira ku misango gy’okuwamba era bakyagenda mu maaso n’okubuuliriza ku nsonga eyo.