Poliisi esuubiza okukola kyona ekisooboka okukwata abatemu bonna abakulembeddemu okutta Muhammad Kirumira. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, abatemu babadde ku bodaboda era basobodde okukuba amasasi wagulu okutiisa abantu oluvanyuma ne bakuba Afande Kirumira amasasi n’omukyala Resty Nnalinya gwe yabadde naye mu mmotoka. Kayima agamba nti abatemu basse abantu bangi nnyo nga […]
Poliisi esuubiza okukola kyona ekisooboka okukwata abatemu bonna abakulembeddemu okutta Muhammad Kirumira.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, abatemu babadde ku bodaboda era basobodde okukuba amasasi wagulu okutiisa abantu oluvanyuma ne bakuba Afande Kirumira amasasi n’omukyala Resty Nnalinya gwe yabadde naye mu mmotoka.

Kayima agamba nti abatemu basse abantu bangi nnyo nga beyambisa bodaboda n’emmundu kyoka Poliisi efunvubidde okubalwanyisa.
Agamba nti wadde Kirumira azikiddwa olunnaku olwaleero ku Ssande ku kyalo Mpambire mu disitulikiti y’e Masaka, Poliisi egenda kukola kyona ekisoboka okunoonya abatemu, bakangavulwe.
Ate omukyala eyattiddwa ne Kirumira, Nnalinya agenda kuzikibwa olunnaku olw’enkya ku Mmande mu bitundu bye Gomba nga 10, September, 2018.