KIWEDDE! Omukyala ayogedde ebyama ku by’okutta bba Kirumira, aleese bwino omukambwe omutali kutya

©GALAXY

Mukyala w’omugenzi Muhammad Kirumira, Mariam Kirumira awanjagidde Gavumenti okunoonyereza abatemu abasanyizaawo bba bakwatibwe mu bwangu. Mariam agamba nti Gavumenti erina okuvaayo okuyamba abantu bawansi kuba abangi bakoseddwa kyoka tebayambiddwa. Agamba nti bba abadde muntu w’abantu kyoka attiddwa era ensonga ze zonna, Gavumenti ebadde ezimanyiko kyoka tayambiddwa. Okubyogera, abadde ku ddwaaliro e Mulago ku ggwanika, omulambo […]


Mukyala w’omugenzi Muhammad Kirumira, Mariam Kirumira awanjagidde Gavumenti okunoonyereza abatemu abasanyizaawo bba bakwatibwe mu bwangu.

Mariam agamba nti Gavumenti erina okuvaayo okuyamba abantu bawansi kuba abangi bakoseddwa kyoka tebayambiddwa.

Agamba nti bba abadde muntu w’abantu kyoka attiddwa era ensonga ze zonna, Gavumenti ebadde ezimanyiko kyoka tayambiddwa.

Okubyogera, abadde ku ddwaaliro e Mulago ku ggwanika, omulambo gwa bba gye guterekeddwa.

Edoobozi ly’omukyala

Taata w'omugenzi Abubaber Kawooya
Taata w’omugenzi Abubaber Kawooya

Ate taata w’omugenzi Abubaber Kawooya asuubiza okuvaayo okwogera ku by’okutta mutabani we essaawa yonna era alemeddeko nti mutabani we alina okuzikibwa olwaleero.