ANTI SSENTE! Enjaga ya bukadde 6,000,000 atabudde abasuubuzi, ebakwasizza ne balagyana

©GALAXY

Poliisi ekutte abasajja babiri (2) ku by’okukukusa enjaga ebalirirwamu obukadde obusukka mukaaga (6). Abakwattiddwa kuliko Frank Igwe omutuuze we Bunga mu divisoni y’e Makindye ne Muhammad Byaruhanga omutuuze we Lubaga. Okusinzira ku bambega ba Poliisi ku kitebe e Kibuli, Byaruhanga yasindise Igwe mu ggwanga ly’e Mozambique okumuleetera ‘ebyaaaguzi bye’ oluvannyuma ebyategeerekese nti yabadde njaga kyokka […]


Poliisi ekutte abasajja babiri (2) ku by’okukukusa enjaga ebalirirwamu obukadde obusukka mukaaga (6).

Abakwattiddwa kuliko Frank Igwe omutuuze we Bunga mu divisoni y’e Makindye ne Muhammad Byaruhanga omutuuze we Lubaga.

Okusinzira ku bambega ba Poliisi ku kitebe e Kibuli, Byaruhanga yasindise Igwe mu ggwanga ly’e Mozambique okumuleetera ‘ebyaaaguzi bye’ oluvannyuma ebyategeerekese nti yabadde njaga kyokka n’atabituusa nga yeekwasa nti abaserikale baabimuwambiddeko mu kkubo, ekintu ekyabatabudde.

Byaruhanga yabadde mu mmotoka ya buyonjo nnamba B509 BGE, yategeezezza Poliisi nti, bwe yabadde ayorekera eggwanga lya Kenya, abaserikale b’e Tanzania baamuyimirizza ne bamuggyako ‘ebyamaguzi’ bye yabadde nabyo nga beekwasa nti byabadde bimenya mateeka.

Ate Frank agamba nti, waliwo eyamuwadde amawulire nti Igwe byonna by’ayogera alimba kuba waliwo eyamulabye ng’ebintu abitundira e Zambia.

Poliisi ekutte abasuubuzi bombi era baguddwako omusango ku fayiro namba GEF 992/2018, oluvannyuma lw’okutemezebwaako nti waliwo enjaga eweza kkiro 14, gye baabadde bakukusa okutundibwa.

Akulira okunoonyereza ku biragalalagala ku kitebe ky’abambega ba Poliisi e Kibuli, Tinka Zarugaba, agambye nti okunoonyereza ku nsonga eyo, kutandiise.