Gavumenti ekaatiriza nti abatuuze b’omu Lusanja mu ggoombolola y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso bamenyebwa mu bukyamu era batandiise okunoonyereza ku nsonga eyo. Ekyama ekyo, kibikuddwa Ssaabawolereza wa Gavumenti, William Byaruhanga bw’abadde mu Palamenti, kwekutegeeza nti Omulamuzi eyali mu musango gwo, eyalagira abatuuze okumenyebwa Rebecca Ester Nasambu ow’e Nabweru n’omuwandiisi we Baker Rwatooro, balagajjalira omuliru […]
Gavumenti ekaatiriza nti abatuuze b’omu Lusanja mu ggoombolola y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso bamenyebwa mu bukyamu era batandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.
Ekyama ekyo, kibikuddwa Ssaabawolereza wa Gavumenti, William Byaruhanga bw’abadde mu Palamenti, kwekutegeeza nti Omulamuzi eyali mu musango gwo, eyalagira abatuuze okumenyebwa Rebecca Ester Nasambu ow’e Nabweru n’omuwandiisi we Baker Rwatooro, balagajjalira omuliru gwabwe.
Byaruhanga agamba nti ekiragiro kya kkooti, kyali kiteekeddwa okusengula abatuuze b’e Mpererwe, Sekanyonyi kyokka ne basengula ab’omu Lusanja, ng’omulamuzi tasobodde kulambula ekitundu ekigenda okumenyebwa.

Abalala abateekeddwa okwewozaako mulimu bawanyondo ba kkooti abakulemberamu okumenya n’abasirikale abaakuuma ekifo mu kiseera ky’okumenya amanyumba g’abatuuze abasuuka mu 300 ku biragiro by’omugagga Medard Kiconco mu October, 2018.
Ku nsonga eyo, sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga asabye Gavumenti okuvaayo okunyonyola eggwanga kyegenda okukolera abatuuze b’omu Lusanja abamenyebwa mu bukyamu kuba tebalina musango.