Omusomesa akwattiddwa ku gw’okusobya ku baana 4 e Luweero

©GALAXY

Omusomesa w’ekibiina eky’okutaano (P5) ku Ssempa Church of Uganda Primary School mu disitulikiti y’e Luweero akwattiddwa Poliisi ku by’okusobya ku bayizi. Robert Muwawu myaka 32 yakwattiddwa ku by’okusobya ku bayizi 4 wakati w’emyaka 4 ne 16 emirundi egiwera. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah Paul Kangave, omusomesa Muwawu okwattibwa, kidiridde abaana abasobezeddwak […]


Omusomesa w’ekibiina eky’okutaano (P5) ku Ssempa Church of Uganda Primary School mu disitulikiti y’e Luweero akwattiddwa Poliisi ku by’okusobya ku bayizi.

Robert Muwawu myaka 32 yakwattiddwa ku by’okusobya ku bayizi 4 wakati w’emyaka 4 ne 16 emirundi egiwera.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah Paul Kangave, omusomesa Muwawu okwattibwa, kidiridde abaana abasobezeddwak okwekubira enduulu eri abakulira abasomero, abasobodde okutemya ku Poliisi.

Kangave agamba nti Muwawu ali mu kaduukulu ka Poliisi e Wobulenzi ku misango gy’okujjula ebitanajja ate akulira abasomesa Yekoboam Nyombi Ssenyonjo naye akwattiddwa n’abasomesa 4 ku misango gy’okulagajjalira emirimu gyabwe.

Emisango gy’okusobya ku baana gyeyongedde mu bitundu bye Luweero nga gyebuvuddeko omusomesa Eria Musoke owa Katikamu Seventh Day Adventist Secondary School e Wobulenzi yakwattibwa ku byokusobya ku mwana eyali mu P4 ku Divine Primary School. James Kimbowa naye musomesa ku New Life Secondary School yakwatibwa ku by’okusobya ku mwana wa P4.

Ku nsonga eyo, omubaka wa Pulezidenti e Luweero (RDC) Phoebe Namulindwa alabudde abasomesa okukomya okuswaza ekitundu kyabwe nga basobya ku baana abato era asuubiza okulwanyisa ebikolwa ebyo.