Taata akwattiddwa ku ky’okuwagira okusobya ku muwala we myaka 9, omulamuzi amutabukidde

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo alagidde taata akwatibwe, bwasabye kkooti okuyimiriza bunnambiro emisango egivunaanibwa omusajja ateeberezebwa okusobya ku muwala we. Taata amannya gasirikiddwa, yasimbiddwa mu kkooti olunnaku olw’eggulo okulumiriza Calvin Mwangi myaka 24, eyasobya ku muwala we myaka 9 mu June, 2016, e Kamwokya. Okusinzira ku ludda oluwaabi, Taata yaddukira Poliisi […]


Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo alagidde taata akwatibwe, bwasabye kkooti okuyimiriza bunnambiro emisango egivunaanibwa omusajja ateeberezebwa okusobya ku muwala we.
Taata amannya gasirikiddwa, yasimbiddwa mu kkooti olunnaku olw’eggulo okulumiriza Calvin Mwangi myaka 24, eyasobya ku muwala we myaka 9 mu June, 2016, e Kamwokya.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Taata yaddukira Poliisi olwa Mwangi okusobya ku mwana we era yabadde aleeteddwa ng’omujjulizi omukulu mu musango gwo.

Kyokka mu kkooti, taata yategezeza omulamuzi nti omusango gugobwe era ng’asaba omusajja Calvin Mwangi agibweko omusango.

Embeera yo, yawaliriza omuwawabirwa Mwangi okufuna akamwenyumwenyu ku matama, ekyatabangudde omulamuzi okulagira abasirikale okukwata ssemaka taata w’omwana atwalibwe ku CPS mu Kampala okutuusa olunnaku olwaleero ku Lwokusatu olw’okuzanyira mu ddembe ly’omwana gwe basobyako.

Omusango guddamu olunnaku olwaleero era kkooti erinze oba taata yasobodde okukyusa endowooza ye.