Poliisi y’e Kira etandiise okunoonyereza engeri omuwala Jane Nagayi myaka 14 gye yattiddwamu mu kiro ekyakeesa ku Lwokusatu nga 19, December, 2018. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti Nagayi abadde abeera ne nnyina e Masozi-Bukasa mu ggoombolola y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso. Nagayi yakubiddwa abantu abatanamanyika ku mutwe ku nsingo […]
Poliisi y’e Kira etandiise okunoonyereza engeri omuwala Jane Nagayi myaka 14 gye yattiddwamu mu kiro ekyakeesa ku Lwokusatu nga 19, December, 2018.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti Nagayi abadde abeera ne nnyina e Masozi-Bukasa mu ggoombolola y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.
Nagayi yakubiddwa abantu abatanamanyika ku mutwe ku nsingo era yasangiddwa ng’ataawa agudde mu nsiko, natwalibwa mu kiliniki e Bukasa ne babategeza nti yafudde dda.
Owoyesigyire agamba nti Nagayi yabadde ava mu katawuni ku mulimu gwa nnyina okudda awaka ku ssaawa nga 4 ez’ekiro kyokka tekimanyiddwa oba yabadde alindiriddwa abatemu okutibwa oba yattiddwa olw’okugaana okumusobyako.
Owoyesigyire era agambye nti Nagayi abadde yavudde mu disitulikiti y’e Gomba ewakitaawe okuggya e Wakiso okuwumula.
Abatuuze bagamba nti Nakayi abadde yakamala ku kitundu ennaku 2 zokka era bakyebuuza lwaki yattiddwa.
Owoyesigyire agamba nti omusango gw’obutemu guguddwawo mu butongole era okunoonyereza kutandikiddewo.
Omulambo gwa Nakayi gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.