TO ALL BAZUKKULU! Museveni asabukuludde obukodyo 4 okutebenkeza eggwanga, alangiridde ekiddako mu bukambwe

©GALAXY

Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni azzeemu okunyikiza ensonga ze 4 ezigenda okuyamba nnyo okulwanyisa ebikolobero mu ggwanga lino. Museveni agamba nti abantu okwekeneenya ebigenda mu maaso mu bitundu byabwe, enkolagana ya Poliisi n’omuntu wa buligyo, Poliisi okwanguwa mu bitundu gy’eyitiddwa n’okusosowaza ennyo tekinologye, kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa abakyamu […]


Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni azzeemu okunyikiza ensonga ze 4 ezigenda okuyamba nnyo okulwanyisa ebikolobero mu ggwanga lino.

Museveni agamba nti abantu okwekeneenya ebigenda mu maaso mu bitundu byabwe, enkolagana ya Poliisi n’omuntu wa buligyo, Poliisi okwanguwa mu bitundu gy’eyitiddwa n’okusosowaza ennyo tekinologye, kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa abakyamu abatigomya abantu.

Bw’abadde ayagaliza abazukkulu Ssekukulu enungi n’omwaka omuggya ogwa 2019, Museveni asiimye ekitongole ekikuuma eddembe ekya Poliisi okweyambisa obukugu bwakyo, okukwata ababbi abatigomya abantu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli abalumbye Biyinzika International Poultry Farm e Kigumba mu ggoombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono okubba enkoko, okukwata abantu abateberezebwa okwenyigira mu kukuba ebyasi ebyasse Dr. Gwaluka Ibrahim sabiti ewedde ku Lwokutaano e Balubandi, Iganga.

Mungeri y’emu anokoddeyo Muhammad Kiddawalime eyattibwa ne Musa Galiwango eyakwatibwa olw’ebijjambiya mu bitundu bye Masaka.

Museveni era agambye nti Ivan Lukwago eyattibwa mu by’okubba omusuubuzi Mayanja Asuman nga 22, omwezi ogwa December e Bukomero ku luguudo lwe Hoima, yaliko omukozi ku Nabukeera Bus Park, ku Allen Road Stage era yali Memba w’akabinja ka Bodaboda 2010.

Agamba nti okuteeka Kamera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, omulimu ogwatandika mu Kampala, kigenda kuyamba nnyo okulwanyisa ebikolobero mu ggwanga n’okusingira mu bibuga.