Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akyamudde abadigize mu kivvulu ekyafundikidde ebikujjuko bya Jubireewo “Enkuuka”. Bobi Wine yayimbidde Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obuyimba obwenjawulo omwabadde “NYIMBILA KABAKA WANGE” enduulu nesanikira Olubiri lwonna era Bbeene yasiimye namuwereza kajjambo. Wabula mu kuyimba kwe, Bobi Wine yagambye nti alina okweyambisa buli […]
Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akyamudde abadigize mu kivvulu ekyafundikidde ebikujjuko bya Jubireewo “Enkuuka”.
Bobi Wine yayimbidde Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obuyimba obwenjawulo omwabadde “NYIMBILA KABAKA WANGE” enduulu nesanikira Olubiri lwonna era Bbeene yasiimye namuwereza kajjambo.
Wabula mu kuyimba kwe, Bobi Wine yagambye nti alina okweyambisa buli mukisa gwafunye okutegeeza bannayuganda ebiri mu ggwanga lyabwe kuba Poliisi esukkiridde okozesebwa okumulemesa okuyimba.
Ku siteegi, oluyimba ‘Freedom’ lwawadde abadigize enseko omwabadde abakungu okuva Emmengo, ababaka ba Palamenti n’abantu babuligyo.
Bobi Wine yabadde ku siteegi okuyimbira abantu kwekutegeeza, “ono omusajja tumutya buti naye nga twakunganye, tumutwala talinya” ekyawadde abadigize n’okusingira ddala abavubuka essannyu.
Ebigambo ebyo, abamu ku bantu batandiise okwebuuza omuntu gwategeeza era yasuubiza nti singa obuyinza bukyuka mu mirembe, bangi ku bannayuganda bakwambala engule obubaka bwe yayisiza mu luyimba.