MORE FIRE! Bobi Wine alemedde ku nsonga y’omusajja, alangiridde kyatandikirako mu 2019, yiino vidiyo mwatadde obubaka obukambwe

©GALAXY

Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alemeddeko okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga lino. Bobi Wine agamba nti 2018 abaddemu okusomozebwa okwamanyi omuli okutulugunyizibwa kyokka wadde embeera eri bwetyo, bakyali ku mulamwa okulwanirira eggwanga lyabwe. Agamba 2019 bannayuganda bonna balina okusigala nga bali bumu, okusigala ku mulamwa okulwanirira enkyukakyuka, okulwanyisa […]


Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alemeddeko okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga lino.

Bobi Wine agamba nti 2018 abaddemu okusomozebwa okwamanyi omuli okutulugunyizibwa kyokka wadde embeera eri bwetyo, bakyali ku mulamwa okulwanirira eggwanga lyabwe.

Agamba 2019 bannayuganda bonna balina okusigala nga bali bumu, okusigala ku mulamwa okulwanirira enkyukakyuka, okulwanyisa ebikolobero n’okumenya amateeka n’okusingira ddala mu kitongole kya Poliisi n’okulwanirira okufuna Uganda nga y’abantu bonna, teriimu kusosola, “My wish for the new year is that as Ugandans, we shall be more united in purpose, more committed to the struggle, more courageous to confront the forces of evil, and more hopeful that we shall build a new Uganda which works for all of us“.

Bobi Wine era agambye nti singa abantu bakwatagana, tewali kiyinza kubalemesa, “A PEOPLE UNITED SHALL NEVER BE DEFEATED“.

Bobi Wine era afulumizza vidiyo y’oluyimba, ‘OLUTALO NGA LUWEDDE, TULIYAMBALA ENGULE (When the struggle is over, we shall wear victors’ crowns)’ okugumya bannayuganda bonna.