OMUSAJJA MUTUUFU! Bebe Cool ayogedde ebyama lwaki awagira Pulezidenti Museveni, aleese bwiino akyamudde abantu

©GALAXY

Omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool myaka 41 awadde ezimu ku nsonga lwaki yavaayo okuwagira ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni. Bebe Cool bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu ‘NBSFrontline’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero agambye nti mu Uganda buli muntu alina eddembe okuwagira omuntu gwayagala n’eddembe ly’okwogera. Mungeri […]


Omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool myaka 41 awadde ezimu ku nsonga lwaki yavaayo okuwagira ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Bebe Cool bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu ‘NBSFrontline’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero agambye nti mu Uganda buli muntu alina eddembe okuwagira omuntu gwayagala n’eddembe ly’okwogera.

Mungeri y’emu agambye nti Pulezidenti Museveni yamusembeza ku lusegere kuba yamulaba ng’alimu omulamwa oguyinza okuyamba eggwanga.

Bebe Cool akakasiza nti abayimbi mu Uganda bali bayisibwamu amaaso nga batwalibwa ng’abayaaye kyokka mu kiseera kino batandiise okubasembeza ku mmeeza.

Ku nsonga y’okuwagira Pulezidenti Museveni, Bebe Cool agambye nti okufuna omukisa okukola ne Pulezidenti Museveni y’emu ku nsonga lwaki ayogerwako mu kiseera kino ate kimufudde omuyimbi owenjawulo mu ggwanga ayogerwako buli muntu era tewali munnayuganda yenna ayinza kubalemesa.