TEBINAGWA! Bobi Wine yali yekoza tebamukubangako, azannya obubadi, Bebe Cool alangiridde olutalo mu lwatu

©GALAXY

Omuyimbi Bebe Cool awakanyiza ebigambibwa nti omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine baamukuba bwe yali akwattiddwa mu bitundu bya Arua mu August, wa 2018. Kinnajjukirwa nti Bobi Wine yakwatibwa n’abantu abenjawulo omubaka wa Jinja East-Paul Mwiru, eyaliko omubaka wa Makindye East- Michael Mabikke, omubaka wa Municipaali y’e Mityana Francis Zaake […]


Omuyimbi Bebe Cool awakanyiza ebigambibwa nti omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine baamukuba bwe yali akwattiddwa mu bitundu bya Arua mu August, wa 2018.

Kinnajjukirwa nti Bobi Wine yakwatibwa n’abantu abenjawulo omubaka wa Jinja East-Paul Mwiru, eyaliko omubaka wa Makindye East- Michael Mabikke, omubaka wa Municipaali y’e Mityana Francis Zaake Butebi, omubaka w’ekibuga Arua Kasiano Wadri n’abalala nga 13, August, 2018 ku misango gy’okwonoona emmotoka ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu n’okukuma mu bantu omuliro.

Ku lunnaku olwo, bali bakomekereza okunoonya akalulu okufuna omubaka okudda mu bigere bya Ibrahim Abiriga eyali omubaka w’ekibuga Arua eyattibwa nga 5, June, 2018, akalulu akawangulwa Kasiano Wadri.

Kigambibwa abawagizi b’ekisinde kya People Power abakulemberwa Bobi Wine bakuuba emu ku mmotoka ya Pulezidenti Museveni amayinja, endabirwamu neyiika, ekyavirako Bobi Wine ne banne okukwatibwa.

Ebifaananyi byafulumizibwa nga biraga nti Bobi Wine, Francis Zaake Butebi batulugunyizibwa nnyo era mu kkooti basaba okweyimirirwa okugenda ebweru w’eggwanga okufuna obujanjabi.

Wabula Bebe Cool bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu ‘NBSFrontline’ ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero, agambye nti Bobi Wine yali yekoza tebamukubangako, azannya obubadi.

Bebe Cool agamba nti toyinza kwambala ngatto enzito nga wakamala okutegeeza bannayuganda nti wakubiddwa ensigo, amaggulu n’omutwe.

Mungeri y’emu agambye nti Bobi Wine alina okuvaayo n’alipoota y’abasawo okumatiza bannansi nti yakubwa okusinga okusasaanya obulimba.

Bebe era agambye nti tewali muntu yenna ayinza kuwoma mu sabiti emu ng’akubiddwa ensigo, ekiraga nti byonna byabulimba, “With the pain we saw on TV and the information that came in during the Arua debacle, can you compare the pain on tv and the time of healing? If I weigh the time of healing, there’s no way a person with a mind would believe that“.