BANNANGE! Kitatta apondoose mu kkooti, ayogedde ebyama ku kyaliwo ng’akwatibwa, aleese bwiino yenna ku mmundu

©GALAXY

Omuyima w’akabinja ka Bodaboda 2010, Abdallah Kitatta atandiise okwewozaako enkya ya leero ku kkooti y’amaggye e Makindye ku misango gy’okusangibwa n’emmundu, amasasi, ebyambalo by’amaggye mu ngeri emenya amateeka. Okusinzira ku ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti, Kitatta ne banne okuli Fred Bwanika, Ssekajja Ibrahim, Amon Twinomujuni, Matia Ssefuka, John Ssebandeke, Joel kibirige ne Sebatta […]


Omuyima w’akabinja ka Bodaboda 2010, Abdallah Kitatta atandiise okwewozaako enkya ya leero ku kkooti y’amaggye e Makindye ku misango gy’okusangibwa n’emmundu, amasasi, ebyambalo by’amaggye mu ngeri emenya amateeka.

Okusinzira ku ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti, Kitatta ne banne okuli Fred Bwanika, Ssekajja Ibrahim, Amon Twinomujuni, Matia Ssefuka, John Ssebandeke, Joel kibirige ne Sebatta Hassan bonna balina okwewozaako ku misango egyabagulwako.

Mu kkooti, Kitatta atandiise n’okulayira era bw’atandiise kwewozaako, atandiikidde ku lunnaku lwe yakwatibwa nga 20, January, 2018, okuva ku woteeri ya Vine Tea e Wakaliga mu Lubaga era agambye nti mu bulamu bwe, takwatangako mmundu yonna.

Kitatta ng'alayira
Kitatta ng’alayira

Kitatta agamba nti yatuukirira omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga z’ebyokwerinda bye nga ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Rubaga nga yali atiisibwatisibwa era Pulezidenti Museveni kwekulagira eyali omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura okuweebwa obukuumi.

Kitatta agamba nti Kayihura yamuwa omusirikale Ngobi Sowali ng’omukuumi we era yeyalina emmundu.

Mu kkooti, Kitatta yegaanye ebigambibwa nti y’omu ku bamemba b’ekibiina kya Bodaboda 2010.

Kitatta era ayanjulidde mu kkooti abantu 3 okumuwolereza ku misango egimuvunaanibwa omuli omukuumi we Ngobi Sowali, Dereeva we Ibrahim Sekajja ne Fred Bwanika.

Ssentebbe Lt. Gen. Andrew Gutti ayongezaayo omusango ogwo okutuusa nga 21, January, 2019.