MUWEDDE! Bobi Wine ne banne bakiguddeko, Minisita alangiridde okuwera ennyimba z’ebyobufuzi zonna mu Uganda

©GALAXY

MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku by’obuwangwa mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, Peace Mutuuzo alabudde abayimbi okukomya okuyimba ennyimba ezigendereddwamu okukuma omuliro mu bantu. Minisita Mutuuzo bwe yabadde akulembeddemu emikolo gy’obuwangwa eggya Uganda Peoples’ Defence Force (UPDF) e Jinja agamba nti ennyimba bwezityo zabulabe nnyo mu bantu kuba ziyinza okutabangula eggwanga lyonna. Minisita agamba nti balina entekateeka […]


MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku by’obuwangwa mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, Peace Mutuuzo alabudde abayimbi okukomya okuyimba ennyimba ezigendereddwamu okukuma omuliro mu bantu.

Minisita Mutuuzo bwe yabadde akulembeddemu emikolo gy’obuwangwa eggya Uganda Peoples’ Defence Force (UPDF) e Jinja agamba nti ennyimba bwezityo zabulabe nnyo mu bantu kuba ziyinza okutabangula eggwanga lyonna.

Minisita agamba nti balina entekateeka okuwera abayimbi abayiimba ennyimba bwezityo mu Uganda.

Peace Mutuuzo
Peace Mutuuzo

Mungeri y’emu agambye nti Gavumenti yakiriza bannayuganda okutumbula ebitone byabwe nga beyambisa okuyimba kyokka abayimbi bangi batandiise okutyoboola omukisa ogwo.

Ku mukolo, Minisita Mutuuzo yategezeza nti abamu ku bayimbi berimbika mu ddembe lyabwe okuyiiya ennyimba ez’obulabe, kyokka tebajja kubakiriza mu ggwanga lino.

Bobi Wine
Bobi Wine

Mu Uganda, abamu ku bayimbi abamanyiddwa mu nsike okuyiimba ennyimba z’ebyobufuzi mulimu Bobi Wine, Ronald Mayinja, Mathias Walukagga, Bebe Cool n’abalala.