EYALI omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Edward Kale Kayihura agondedde ebiragiro bya kkooti y’amaggye bye yamussaako bwe yali emuyimbula ku kakalu ka kkooti era nkya ya leero azzeemu okweyanjula mu kkooti e Makindye. Gen Kayihura agidde mu nkukutu okwewala bannamawulire era atuukidde mu woofiisi ya ssentebbe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti. Omusango gwe, […]
EYALI omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Edward Kale Kayihura agondedde ebiragiro bya kkooti y’amaggye bye yamussaako bwe yali emuyimbula ku kakalu ka kkooti era nkya ya leero azzeemu okweyanjula mu kkooti e Makindye.
Gen Kayihura agidde mu nkukutu okwewala bannamawulire era atuukidde mu woofiisi ya ssentebbe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti.
Omusango gwe, gwongezeddwaayo okutuusa nga 4,February, 2019 okuwa obudde oludda oluwaabi okomekereza okunoonyereza.
Gen Kayihura yayimbulwa nga 28, August, 2018 oluvannyuma lw’ennaku 72 mu nkomyo.
Kkooti ng’ekulembeddwamu Lt. Gen. Andrew Gutti yayimbula Kayihura ku kakalu ka bukadde bubiri ezitali za buliwo n’okweyanjulanga mu kkooti buli Mmande esooka buli mwezi.
Gen Kayihura avunaanibwa emisango esatu okuli okulemererwa okubalirira emmundu n’ebyokulwanyisa bwe yagabira abantu abenjawulo okuli ne ssentebe wa Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta, ebitongole okuli Flying Squard n’ebirala.
Mungeri y’emu avunaanibwa okuyambako mu kuwamba bannansi ba Rwanda abaali baduukidde mu Uganda nga babazza e Rwanda ewatali lukusa n’emisango emirala.