Tamale Mirundi aswaziiza omusumba Wilson Bugembe ow’ekkanisa ya Light the World e Nansana bwamulangidde okunywa omwenge n’enjaga. Olunnaku olw’eggulo Omusumba Bugembe yategezeza nti yejjusa okuyimba mu luyimba “Tuliyambala Engule” ne bayimbi banne omuli Bobi Wine kuba oluyimba lwa byabufuzi. Omusumba Bugembe agamba nti singa yategezebwa eby’okuyimbako mu luyimba lwonna, yalibadde tayimba. Ku nsonga y’okuwagira Gavumenti, […]
Tamale Mirundi aswaziiza omusumba Wilson Bugembe ow’ekkanisa ya Light the World e Nansana bwamulangidde okunywa omwenge n’enjaga.
Olunnaku olw’eggulo Omusumba Bugembe yategezeza nti yejjusa okuyimba mu luyimba “Tuliyambala Engule” ne bayimbi banne omuli Bobi Wine kuba oluyimba lwa byabufuzi.
Omusumba Bugembe agamba nti singa yategezebwa eby’okuyimbako mu luyimba lwonna, yalibadde tayimba.

Ku nsonga y’okuwagira Gavumenti, Omusumba Bugembe yategezeza nti ye muwagizi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kyokka Bobi Wine mukwano gwe nnyo nga yabadde alina okuyimba.
Enkya ya leero, Mirundi bw’abadde ku NBS TV mu pulogulamu ‘ONE ONE ONE WITH TAMALE MIRUNDI” agambye nti Omusumba Bugembe anywa omwenge n’enjaga era y’emu ku nsonga lwaki yejjusa okuyimba mu luyimba olwo mu kiseera kino.
Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera ky’okuyimba Omusumba Bugembe yabadde enjaga n’omwenge, nga tategeera by’ayimba.